Isaiah 5:26-28


26 aEra aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera,
alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi,
era laba,
balyanguwako okujja.
Abalirumba baliba Basuuli.

27 cTewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala.
Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka.
Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye,
wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka.
28 dObusaale bwabwe bwogi,
n’emitego gyabwe gyonna mireege.
Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale,
Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.
Copyright information for LugEEEE